Genesis 36:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be baami b'abantu abaasibuka mu Ezawu. Ezzadde lye mu Elifazi mutabani wa Ezawu omuggulanda: omwami Teemani, omwami Omari, omwami Zefo, omwami Kenazi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be bakulu b’enda ya Esawu: Enda ya Erifaazi omubereberye wa Esawu: Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Kenazi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bino bye bika ebisibuka mu baana ba Esawu. Okuva mu Erifaazi omubereberye wa Esawu: ekika kya Temani, ekya Omali, ekya Zefo, ekya Kenazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be bakulu b'ennyumba z'abazzukulu ba Esawu. Batabani ba Elifaazi, omwana omubereberye owa Esawu, be bano: Temani, ne Omari, ne Zefo, ne Kenazi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Esawu abaalya obwami baabano: abaana ba Erifaazi omubereberye wa Esawu; omukungu Temani, omukungu Omali, omukungu Zefo, omukungu Kenazi,