Genesis 36:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be batabani ba Reweli mutabani wa Ezawu: omwami Nakati, omwami Zeraki, omwami Samma, omwami Mizza. Abo be baami ba Reweli mu Edomu era be batabani ba Basemati muka Ezawu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enda ya Leweri mutabani wa Esawu: Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza nabo baali mu nsi ya Edomu, era baava mu Basimansi, mukazi wa Esawu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva mu Leweri: ekika kya Nakasi, ekya Zeera, ekya Samma n'ekya Mizza. Ebyo bye bika ebyava mu Leweri mu nsi ya Edomu, era be bazzukulu ba Basimansi mukazi wa Esawu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be batabani ba Reweli omwana wa Esawu: Nakati, ne Zeera ne Samma, ne Mizza. Abo be bakulu b'ennyumba z'abaasibuka mu Reweli mu nsi ya Edomu, era be bazzukulu ba Basemati muka Esawu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Leweri omukungu wa Esawu baabano; omukungu Nakasi, omukungu Zecra, omukungu Samma, omukungu Mizza: abo be bakungu abaava mu Leweri mu nsi ya Edomu; abo be baana ba Basimansi omukazi wa Esawu.