Genesis 36:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be batabani ba Olibama muka Ezawu: omwami Yewusi, omwami Yalamu, omwami Kora. Abo be baami ba Olibama muka Ezawu muwala wa Ana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaazaalibwa Okolibama mukazi wa Esawu, muwala wa Ana: Yewusi, ne Yalamu ne Koola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okolibama, mukazi wa Esawu, ye jjajja w'ebika bino: ekya Yewusi, ekya Yalamu, n'ekya Koola. Ebyo bye bika ebyava mu Okolibama muwala wa Ana, mukazi wa Esawu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be batabani ba Oholibama muka Esawu: Yewusi, ne Yalamu, ne Koora. Abo be bakulu b'ennyumba z'abaasibuka mu Oholibama, muwala wa Ana era muka Esawu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Okolibama omukazi wa Esawu baabano; omukungu Yewusi, omukungu Yalamu, omukungu Koola: abo be bakungu abaava mu Okolibama omuwala wa Ana, mukazi wa Esawu.