Genesis 36:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be batabani ba Zibewoni: Aya ne Ana. Ana ono ye yazuula mu ddungu enzizi z'amazzi agookya bwe yali alunda endogoyi za kitaawe Zibewoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aba Zibyoni, be ba Aya ne Ana; ono ye Ana eyavumbula ensulo z’amazzi agookya, ezaali mu ddungu; bwe yali ng’alunda endogoyi za kitaawe Zibyoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Zibyoni be bano: Aya ne Ana. Ana oyo ye yazuula mu ddungu enzizi z'amazzi agookya, bwe yali ng'alunda endogoyi za Zibyoni kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana ba Zibiyoni be bano: Aya ne Ana. Ana oyo ye yazuula mu ddungu enzizi z'amazzi agookya, bwe yali ng'alunda endogoyi za Zibiyoni kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana be Zibyoni baabano; Aya ne Ana: Ana ye oyo eyalaba enzizi z'amazzi agabuguma mu ddungu, bwe yali alunda endogoyi za Zibyoni kitaawe.