Genesis 36:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kusamu bwe yafa, Adadi mutabani wa Bedadi n'amusikira ku bwakabaka; yawangula Midiyaani mu nsi y'e Mowabu; ekibuga kye nga kiyitibwa Aviti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani, mu nsi ya Mowaabu n’afuga mu kifo kye; ng’afugira mu kibuga ky’e Avisi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kusamu n'afa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani mu nsi ya Mowaabu, n'alya obwakabaka mu kifo kye; n'ekibuga kye nga kiyitibwa Avisi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Husamu n'afa Hadadi mutabani wa Bedadi eyawangula Midiyaani mu nsi ya Mowaabu, n'alya obwakabaka mu kifo kye, era ekibuga kye nga kiyitibwa erinnya Aviti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kusamu n'afa, Kadadi omwana wa Bedadi, eyakuba Midiyaani mu nnimiro ya Mowaabu, n'alya obwakabaka mu kifo kye: n'ekibuga kye erinnya lyakyo Avisi.