Genesis 36:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali-Kanaani mutabani wa Akubori bwe yafa, Adari n'amusikira ku bwakabaka; ekibuga kye nga kiyitibwa Pawu; mukazi we ng'ayitibwa Meetabeli muwala wa Maturedi muwala wa Me-Zawabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate Balukanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali n’afuga mu kifo kye, ng’ali mu kibuga kye Pawu; mukazi we yayitibwanga Meketaberu muwala wa Mezakabu ne Matirida.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baalukanani mutabani wa Akubooli n'afa, Kadali n'alya obwakabaka mu kifo kye: n'ekibuga kye nga kiyitibwa Pawu. Erinnya lya mukazi we ye Meketaberi, muwala wa Matuledi, muzzukulu wa Mezakabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baalikanaani mutabani wa Akuboori n'afa, Hadari n'alya obwakabaka mu kifo kye, era ekibuga kye nga kiyitibwa erinnya Pawu. Erinnya lya mukazi we ye Mehetabeli, muwala wa Maturedi, muwala wa Mezahaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baalukanani omwana wa Akubooli n'afa, Kadali n'alya obwakabaka mu kifo kye: n'ekibuga kye erinnya lyakyo Pawu; ne mukazi we erinnya lye Meketaberi, omwana wa Matuledi, omwana wa Mezakabu.