Genesis 36:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gano ge mannya g'abaami ba Ezawu mu ndyo zaabwe n'ebitundu n'amannya gaabyo: omwami Timuna, omwami Aluva, omwami Yeteti,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be bakulu b’enda zaabo abaava mu Esawu, nga bwe baali mu bifo byabwe: Timuna, ne Aluva, ne Yesesi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebika ebyava mu Esawu bye bino: ekika kya Timuna, ekya Aluva, n'ekya Yasesi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be bakulu b'ennyumba z'abaasibuka mu Esawu, ng'ebika byabwe n'ebifo byabwe n'amannya gaabwe bwe biri, Timuna, Aluva, Yeteti,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amannya g'abaami abaava mu Esawu, ng'ebika byabwe, n'ebifo byabwe, n'amannya gaabwe bwe biri, gaagano; omwami Timuna, omwami Aluva, omwami Yesesi;