Genesis 36:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezawu yatwala bakazi be, batabani be, bawala be, ne bonna ab'omu nnyumba ye, n'amagana n'ebisolo by'awaka, na byonna bye yali afunidde mu nsi Kanaani, n'asengukira mu nsi eyeesuddeko okuva ku muganda we Yakobo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Esawu n’atwala bakazi be, ne batabani be, ne bawala be n’abantu be bonna, n’ente ze, awamu n’ebintu bye byonna bye yafuna mu nsi ya Kanani; n’agenda mu nsi ey’ewala ku ya muganda we Yakobo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Esawu n'addira bakazi be ne batabani be ne bawala be n'abantu bonna abaali mu nnyumba ye, n'ebisolo bye byonna, n'ebintu bye byonna bye yafunira mu nsi ya Kanani; n'agenda mu nsi endala, n'abeera wala ne muganda we Yakobo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Esawu n'addira bakazi be ne batabani be ne bawala be n'abantu bonna ab'omu maka ge, n'ensolo ze zonna, n'ebintu bye byonna bye yafunira mu nsi ya Kanaani, n'agenda mu nsi endala, n'aviira muganda we Yakobo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Esawu n'addira bakazi be ne batabani be ne bawala be, n'abantu bonna abaali mu nnyumba ye, n'ebisibo bye n'ensolo ze zonna, n'ebintu bye byonna, bye yakuŋŋaanyiza mu nsi ya Kanani; n'agenda mu nsi endala n'abeera wala ne muganda we Yakobo.