Genesis 36:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'obugagga obungi bwe baalina, nga tebakyasobola kubeera wamu; ensi mwe baali nga tebamala olw'obungi bw'amagana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga obugagga bwabwe bwali bungi nnyo nga tebukyabasobozesa kubeera wamu n’ensi mwe baali ng’ebafundiridde olw’obungi bw’ebisolo byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ebintu byabwe byali bingi nnyo nga tebayinza kubeera wamu. Ensi mwe baabeeranga yali tekyayinza kubamala olw'amagana amangi ge baalina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga baalina ebintu bingi nnyo, nga tebayinza kubeera wamu. Ensi mwe baabeeranga yali tekyayinza kubamala olw'amagana amangi ge baalina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebintu byabwe byali bingi bwe biti n'okuyinza tebaayinza kutuula wamu; n'ensi gye baatuulamu teyabayinza olw'ebisibo byabwe.