Genesis 37:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yakinyumiza kitaawe ne baganda be, kitaawe n'amukomako n'agamba nti: “Ekirooto kino kitegeeza ki? Nze ne nnyoko ne baganda bo tulikuvunnamira ku ttaka?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe yakitegeeza kitaawe ng’ali wamu ne baganda be, kitaawe n’amunenya ng’agamba nti, “Kirooto ki kino ky’oloose? Ddala nze ne nnyoko awamu ne baganda bo tulijja ne tuvuunama mu maaso go?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akibuulira kitaawe ne baganda be; kitaawe n'amunenya, n'amugamba nti, “Kirooto ki kino kye waloose? Nze ne nnyoko ne baganda bo tulijja okukuvuunamira?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akibuulira ne kitaawe. Kitaawe n'amunenya, n'amugamba nti: “Kirooto ki kino kye waloose? Nze ne nnyoko ne baganda bo, ffe tulijja ne tukuvuunamira?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akibuulira kitaawe ne baganda be; kitaawe n'amunenya, n'amugamba nti Kirooto ki kino ky'oloose? Nze ne nnyoko ne baganda bo okujja tulijja okukuvuunamira?