Genesis 37:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo baganda be ne bamukwatirwa obuggya; naye ye kitaawe ekigambo ekyo n'akikuuma mu birowoozo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baganda be ne bamukwatirwa obuggya, kyokka ye kitaabwe n’akuuma ekigambo ekyo mu mutima gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baganda be ne bamukwatirwa obuggya; naye kitaawe n'akuumanga ebigambo ebyo bye yayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baganda ba Yosefu ne bamukwatirwa obuggya, naye kitaawe n'akuumanga ebyo Yosefu bye yayogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baganda be ne bamukwatirwa obuggya; naye kitaawe n'ajjukira ebyo bye yayogera.