Genesis 37:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli n'agamba Yozefu nti: “Baganda bo balunda endiga kumpi n'e Sekemu, jjangu, ka nkutume gye bali.” Ye n'ayanukula nti: “Neetegese.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isirayiri n’alyoka agamba Yusufu nti, “Nga baganda bo bwe balundira e Sekemu, jjangu nkutume gye bali.” Yusufu n’amuddamu nti, “Nzuuno ntuma.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri n'abuuza Yusufu nti, “Baganda bo tebalunda kisibo mu Sekemu? Jjangu nkutume gyebali.” N'amuddamu nti, “Nzuuno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisirayeli n'agamba Yosefu nti: “Baganda bo bali Sekemu, gye balundira eggana. Jjangu nkutume gye bali.” Yosefu n'amuddamu nti: “Nzuuno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri n'agamba Yusufu nti Baganda bo tebalunda kisibo mu Sekemu? jjangu nkutume gye bali. N'amugamba nti Nze nzuuno.