Genesis 37:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Genda, olabe baganda bo nga bwe bali n'amagana nga bwe gali, ate okomewo ombuulire ebifaayo.” N'amutuma ng'asinziira mu kiwonvu ky'e Keburoni; Yakobo n'agenda e Sekemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka amugamba nti, “Genda kaakano olabe obanga baganda bo n’ekisibo bali bulungi, okomewo ontegeeze.” Awo n’amutuma okuva mu kiwonvu kya Kebbulooni, n’atuuka e Sekemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, “Genda kaakano olabe nga baganda bo gyebali balungi, era n'ekisibo nga gye kiri kirungi; okomewo ombuulire.” Awo n'amutuma okuva mu kiwonvu eky'e Kebbulooni, n'atuuka e Sekemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kitaawe n'amugamba nti: “Genda kaakano olabe oba nga baganda bo bali bulungi, era oba nga n'eggana liri bulungi, okomewo ombuulire.” Awo n'amutuma okuva mu kiwonvu eky'e Heburooni. Yosefu n'atuuka e Sekemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Genda kaakano olabe nga baganda bo gyebali balungi, era n'ekisibo nga gyekiri kirungi; okomewo ombuulire. Awo n'amutuma okuva mu kiwonvu eky'e Kebbulooni, n'atuuka e Sekemu.