Genesis 37:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'ayanukula nti: “Nnoonya baganda bange; nnyamba ombuulire gye balundira endiga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amuddamu nti, “Noonya baganda bange, nkwegayiridde mbuulira gye balundira ekisibo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'addamu nti, “ Nnoonya baganda bange; nkwegayiridde, mbuulira gye balundidde ekisibo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'addamu nti: “Nnoonya baganda bange. Nkwegayiridde, mbuulira gye balundira eggana.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Nnoonya baganda bange: mbuulira, nkwegayiridde, gye balundidde ekisibo.