Genesis 37:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye kifaayo kya Yakobo. Yozefu bwe yali akyali mulenzi muto, ng'aweza emyaka kkumi na musanvu, yali alunda amagana wamu ne baganda be batabani ba Biluwa ne Zilupa bakazi ba kitaawe, n'aloopa baganda be eri kitaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bino bye bifa ku lulyo lwa Yakobo: Yusufu bwe yali nga wa myaka kkumi na musanvu ng’ali ne baganda be batabani ba Biira ne Zirifa, nga balunda ekisibo ky’endiga, Yusufu n’ategeezanga Yakobo kitaabwe ebintu ebibi bye baakolanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bino bye byafaayo bya maka ga Yakobo: Yusufu bwe yali nga awezezza emyaka kkumi na musanvu (17), yali ng'alunda ekisibo awamu ne baganda be, n'abanga wamu n'abaana ba Bira, n'abaana ba Zirupa, abakazi ba kitaawe. Yusufu n'aloopanga eri kitaawe ebibi bye baakolanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye bifa ku maka ga Yakobo: Yosefu bwe yali nga muvubuka wa myaka kkumi na musanvu, n'alundanga endiga ne baganda be abaana ba Biliha ne Zilupa, baka kitaawe. Yosefu n'aloopanga eri kitaawe ebibi bye baakolanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuzaala kwa Yakobo kuukuno. Yusufu bwe yali yaakamaze emyaka kkumi na musanvu, yali alunda ekisibo awamu ne baganda be: omulenzi n'abanga wamu n'abaana ba Bira, n'abaana ba Zirupa, abakazi ba kitaawe: Yusufu n'abuuliranga kitaabwe ebigambo byabwe ebibi.