Genesis 37:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rubeni bwe yakiwulira, n'ayagala okumuwonya mu mikono gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Lewubeeni bwe yakiwulira n’agezaako okumuwonya mu mikono gyabwe n’agamba nti, “Tetumutta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lewubeeni bwe yawulira ekyo n'afuba okuwonya Yusufu n'agamba nti, “tuleme okumutta.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rewubeeni bwe yawulira ekyo, n'afuba okuwonya Yosefu n'agamba nti: “Tuleme okumutta.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lewubeeni n'awulira ekyo, n'amuwonya mu mukono gwabwe; n'ayogera nti Tuleme okumuttira ddala.