Genesis 37:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rubeni n'agamba nti: “Tuleme kumutta. Muleme kuyiwa musaayi; mumusuule mu kinnya kino ekiri mu ddungu, naye temumussaako mukono gwammwe.” Yali ayagala kumuggya mu mikono gyabwe amuddize kitaawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tuleme kuyiwa musaayi; ka tumusuule mu bunnya buno wano mu nsiko. Temumuteekako mukono gwammwe.” Yayogera bw’atyo alyoke amuwonye mu mikono gyabwe, amuddize kitaawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lewubeeni era n'agamba nti, “Temuyiwa musaayi. Mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumukolako kabi.” Yayogera bw'atyo ng'ayagala amuwonye, amuddize kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rewubeeni era n'agamba nti: “Temuyiwa musaayi. Mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumukolako kabi.” Yayogera bw'atyo ng'ayagala abamuwonye, amuddize kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lewubeeni n'abagamba nti Temuyiwa musaayi; mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumussaako mukono: alyoke amuwonye mu mukono gwabwe, okumuddiza kitaawe.