Genesis 37:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali batudde balya emmere, bwe baayimusa amaaso, ne balaba ekibinja ky'abasuubuzi Abayisimayeli nga bava e Gileyaadi, eŋŋamiya zaabwe nga zeetisse ebirungo, amasanda ag'eddagala n'obubaani obwa mirra nga zibitwala mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baatuula okulya, ne bayimusa amaaso ne balengera ekibiina ky’Abayisimayiri nga bava e Gireyaadi, ng’eŋŋamira zaabwe zeettise ebyakaloosa, n’envumbo ne mooli nga bali mu lugendo babitwala e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baali nga balya, ne bayimusa amaaso gaabwe, ne balengera ekibiina ky'Abayisimaeri abaava mu Gireyaadi nga batambula, nga balina eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'envumbo ne mooli, nga babitwala mu Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali nga balya, ne bayimusa amaaso gaabwe, ne balengera ekibinja ky'Abayisimayeli abava mu Gileyaadi nga balina eŋŋamiya ezeetisse envumbo n'ebyobuwoowo ebiyitibwa baamu ne mirra, nga babitwala mu Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batuula okulya emmere: ne bayimusa amaaso gaabwe ne batunula, era, laba, ekibiina ky'Abaisimaeri abaava mu Gireyaadi nga batambula, nga balina eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'envumbo ne moli, nga babitwala mu Misiri.