Genesis 37:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugire tumuguze Abayisimayeli mu kifo ky'okumutta, anti muganda waffe, mubiri gwaffe, musaayi gwaffe.” Baganda be ne bakkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tumuguze Abayisimayiri. Omukono gwaffe guleme okumubaako, kubanga muganda waffe, omubiri gwaffe gwennyini.” Baganda be ne bakkiriziganya naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale tumutunde mu ba Isimaeri, ffe tuleme kumukolako kabi, kubanga muganda waffe, era musaayi gwaffe.” Baganda be ne bakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale tumutunde mu Bayisimayeli, ffe tuleme kumukolako kabi, kubanga muganda waffe, era musaayi gwaffe.” Baganda be ne bakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ttumuguze Abaisimaeri, so omukono gwaffe guleme okumubaako; kubanga ye muganda waffe, gwe mubiri gwaffe. Baganda be ne bamuwulira.