Genesis 37:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo yayagalanga Yozefu okusinga abaana be bonna, kubanga yali mwana we eyamuzaalirwa mu bukadde, n'amutungira ekkanzu ey'amajjolobera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Isirayiri n’ayagala nnyo Yusufu okusinga abaana be abalala, kubanga nga ye mwana ow’omu bukadde bwe; n’amutungira ekyambalo eky’amabala amangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri yayagala Yusufu okusinga abaana be bonna, kubanga gwe yazaala ng'akaddiye; n'amutungira ekyambalo eky'amabala amangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisirayeli yayagalanga Yosefu okusinga abaana be abalala bonna, kubanga gwe yazaala mu bukadde. N'amutungira ekyambalo eky'amabala amangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Isiraeri yayagala Yusufu okusinga abaana be bonna, kubanga gwe yazaala ng'akaddiye: n'amutungira ekizibawo eky'amabala amangi.