Genesis 37:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne batwala ekkanzu ey'amajjolobera eri kitaabwe, ne bagamba nti: “Tusanze kino; laba oba ye kkanzu ya mutabani wo, oba nedda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baddira ekyambalo ekyo eky’amabala amangi ne bakitwalira kitaabwe ne bamugamba nti, “Twalaba ekyambalo kino, kikebere olabe obanga kye kya mutabani wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne baddira ekyambalo ekyo ne bakitwalira kitaabwe; ne bamugamba nti, “Twasanga ekyambalo kino. Kaakano laba oba nga kye kyambalo ky'omwana wo, oba si ky'ekyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baweereza ekyambalo ekyo eky'amabala amangi, ne bakireetera kitaabwe, ne bagamba nti: “Twazuula kino. Kaakano laba oba nga kye kyambalo ky'omwana wo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne baweereza ekizibawo eky'amabala amangi, ne bakireetera kitaabwe; ne boogera nti Twalaba kino: kaakano tegeera obanga kye kizibawo eky'omwana wo nantiki si kyo.