Genesis 37:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitaawe n'agitegeera, n'agamba nti: “Kkanzu ya mwana wange. Ensolo enkambwe yamulya, ekisolo kyamutaagula.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akyetegereza n’agamba nti, “Kye kyambalo kya mutabani wange! Ensolo enkambwe yamulya. Ddala Yusufu yataagulwataagulwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'akitegeera, n'agamba nti, “Kye kizibawo eky'omwana wange; ensolo ey'omunsiko yamulya; awatali kubuusabuusa, Yusufu yataagulwataagulwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'akitegeera, n'agamba nti: “Kye kyambalo eky'omwana wange. Ensolo ey'omu ttale yamulya. Awatali kubuusabuusa, Yosefu yataagulwataagulwa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akitegeera, n'ayogera nti Kye kizibawo eky'omwana wange; ensolo embi yamulya; Yusufu yataagulwataagulwa awatali kubuusabuusa.