Genesis 37:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayuza ebyambalo bye, ne yeesiba ekikutiya mu kiwato, n'amala ennaku nnyingi ng'akaabira omwana we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo n’ayuza ebyambalo bye, n’akungubagira Yusufu okumala ebbanga ddene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'ayuzaayuza engoye ze, ne yeesiba ebibukutu mu kiwato, n'akungubagira omwana we okumala ennaku nnyingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, ne yeesiba ekikutiya mu kiwato, n'amala ennaku nnyingi ng'akungubagira omwana we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'ayuzaayuza engoye ze, ne yeesiba ebibukutu mu kiwato, n'akungubagira omwana we ennaku nnyingi.