Genesis 37:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani be ne bawala be bonna ne bajja bakubagize kitaabwe; n'agaana okukubagizibwa; n'agamba nti: “Nedda! Ndiserengeta mu magombe eri omwana wange nga ndira.” Kitaawe n'amukaabira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani be bonna ne bawala be ne bagenda gy’ali okumusanyusa, kyokka ye n’atakkiriza kusanyusibwa. N’agamba nti, “Nedda, ndikka emagombe nga nkyakungubagira omwana wange Yusufu.” Bw’atyo Yakobo n’akungubagira nnyo Yusufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani be bonna ne bawala be bonna ne bajja okumugumya naye ne kitasoboka, n'abagamba nti, “Ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani be bonna ne bawala be ne bajja okumukubagiza, naye n'agaana okukubagizibwa, n'agamba nti: “Ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba!” N'ayongera okumukaabira amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani be bonna ne bawala be bonna ne bagolokoka okumusanyusa; naye n'agaana okusanyusibwa; n'ayogera nti Kubanga ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba. Kitaawe n'amulirira amaziga.