Genesis 37:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalootayo n'ekirooto ekirala n'akinyumiza baganda be nti: “Mu kirooto nalabye enjuba, omwezi n'emmunyeenye kkumi n'emu nga binsinza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’aloota ekirooto ekirala n’akitegeeza baganda be, n’agamba nti, “Ndoose ekirooto ekirala: ne ndaba enjuba n’omwezi n’emmunyeenye ekkumi n’emu nga binvuunamira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aloota nate ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be n'ayogera nti, “Laba, nnaloose ekirooto ekirala; ng'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye ekkumi n'emu (11) nga binvuunamira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu era n'aloota ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be, n'agamba nti: “Naloose ekirooto ekirala, mwe nalabidde enjuba n'omwezi n'emmunyeenye kkumi n'emu nga binvuunamira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aloota nate ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be n'ayogera nti Laba, ndoose n'ekirooto ekirala; era, laba, enjuba n'omwezi n'emmunnyeenye ekkumi n'emu ne binvuunamira.