Genesis 38:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Yuda n'aleka baganda be n'aserengeta, n'agenda abeera ew'omusajja Omwadullamu ayitibwa Kira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka Yuda n’ava ku baganda be n’aserengeta, n’ayingira ew’Omudulamu, erinnya lye, Kira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu biro ebyo Yuda n'ava mu baganda be n'agenda n'abeera n'omusajja Omwadulamu, erinnya lye Kira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu biro ebyo, Yuda n'ava mu baganda be, n'agenda n'omusajja Omwadulaamu, erinnya lye Hira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu biro ebyo Yuda n'ava mu baganda be n'aserengeta, n'ayingira mu nnyumba ey'omu Adulamu, erinnya lye Kira.