Genesis 38:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera ekyo, Yuda yagamba Tamari mukaamwana nti: “Genda omalire obwannamwandu mu nnyumba ya kitaawo okutuusa mutabani wange Sela lw'anaakula.” Kubanga yali atya nti: “Sikulwa nga naye afa nga baganda be.” Ne Tamari n'agenda n'abeera mu nnyumba ya kitaawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yuda olw’okutya nti Seera ayinza okufa nga baganda be, n’agamba Tamali nti, “Ogira obeera nnamwandu, ng’oli mu nnyumba ya kitaawo okutuusa Seera lw’alikula.” Tamali kwe kugenda n’abeera mu nnyumba ya kitaawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda n'alyoka agamba Tamali muka mwana we nti, “Beerera awo nnamwandu mu nnyumba ya kitaawo, okutuusa Seera omwana wange lw'alimala okukula.” Yayogera bw'atyo, kubanga yatya nti Seera naye ayinza okufa nga baganda be. Awo Tamali n'agenda n'abeera mu nnyumba ya kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yuda n'agamba Tamari muka mwana we nti: “Sigala ng'oli nnamwandu mu nnyumba ya kitaawo, okutuusa mutabani wange Seela lw'alimala okukula.” Yayogera bw'atyo, kubanga yatya nti n'oyo naye ajja kufa nga baganda be. Awo Tamari n'agenda n'abeera mu nnyumba ya kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda n'alyoka agamba Tamali muka mwana we nti Beerera awo nnamwandu mu nnyumba ya kitaawo, okutuusa Seera omwana wange lw'alimala okukula: kubanga yayogera nti N'oyo aleme okufa nga baganda be. Tamali n'agenda n’abeera mu nnyumba ya kitaawe.