Genesis 38:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbanga nga liyiseewo ddene, muwala wa Suwa, muka Yuda, n'afa. Ennaku ez'okukubagizibwa bwe zaggwa, Yuda n'ayambuka e Timuna ne mukwano gwe Kira Omwadullamu okulaba abamwa endiga ebyoya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo ebbanga mukazi wa Yuda, muwala wa Suwa n’afa. Yuda bwe yayita mu kukungubaga, n’agenda ne Kira Omudulamu e Timuna eri basajja be abasazi b’ebyoya by’endiga ze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiseera nga kiyiseewo, muka Yuda, muwala wa Suuwa n'afa. Ebiseera eby'okukungubaga bwe byaggwaako, Yuda ne mukwano gwe Kira Omwadulaamu ne bambuka e Timuna, eri abasajja be abasalako endiga ebyoya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo ekiseera, muka Yuda, muwala wa Suuwa n'afa. Ebiseera eby'okukungubaga bwe byaggwaako, Yuda ne mukwano gwe Hira Omwadulaamu ne bambuka e Timuna, eri basajja be abasalako endiga ebyoya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebiro ne biyitawo omuwala wa Suwa, omukazi wa Yuda, n'afa; Yuda n'ayabya olumbe, n'ayambuka, ye ne mukwano gwe Kira Omwadulamu, e Timuna eri basajja be abaasala endiga ebyoya.