Genesis 38:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ayambulamu eby'obwannamwandu, ne yeebikka ekiremba okwefuulafuula, n'atuula ku mulyango oguyingira mu Enayimu ku kkubo erigenda e Timuna, kubanga yalaba nga Sela yali akuze naye nga tamumuweereddwa nga mukazi we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’asuula eri ebyambalo by’obwannamwandu ne yeeteekako ekiremba ne yeebikkirira, n’atuula ku mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo ng’ogenda e Timuna. Kubanga yamanya nti, Seera akuze, kyokka nga tamuweereddwa ku muwasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tamali neyeyambulamu ebyambalo eby'obwannamwandu bwe, ne yeebikka olugoye olw'oku mutwe, ne yeewumba, n'atuula mu mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo erigenda e Timuna; kubanga yalaba nga Seera amaze okukula, ne batamumuwa okumuwasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne yeeyambulamu ebyambalo eby'obwannamwandu, n'asiba ekitambaala ku mutwe, ne yeebikka mu maaso, n'atuula ku mulyango gwa Enayimu, ekibuga ekiri ku kkubo erigenda e Timuna. Yakola bw'atyo kubanga yalaba nga Seela amaze okukula ne batamumuwa kumufumbirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayambulamu ebyambalo eby'obwannamwandu bwe, ne yeebikka olugoye olw'oku mutwe, ne yeewumba, n'atuula mu mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo erigenda e Timuna; kubanga yalaba nga Seera amaze okukula, ne batamumuwa okumuwasa.