Genesis 38:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akyama we yali ku kkubo n'amugamba nti: “Owange, gira neebakako naawe.” Yali tamanyi nti ye mukaamwana. Ye n'amwanukula nti: “Okwebaka naawe onompa ki?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agenda gy’ali ku mabbali g’ekkubo, n’amugamba nti, “Jjangu, neetabe naawe,” kubanga teyamanya nti ye yali muka mutabani we. Tamali kwe ku mubuuza nti, “Onompa ki bwe neetaba naawe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agenda gy'ali ku mabbali g'ekkubo, n'amugamba nti, “Nkwegayiridde ka nneegatte naawe.” Yayogera bw'atyo kubanga teyamanya nti ye muka mwana we. N'amuddamu nti, “Onoompa ki bw'oneegatta nange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agenda gy'ali ku mabbali g'ekkubo, n'agamba nti: “Jjangu neebake naawe,” nga tamanyi nti ye muka mwana we. N'agamba nti: “Onompa ki olyoke weebake nange?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akyamira gy'ali okuva mu kkubo n'ayogera nti Kale nno, nkwegayiridde, nnyingire gy'oli: kubanga teyamanya nga ye muka mwana we. N'ayogera nti Onompa ki bw'onooyingira gye ndi?