Genesis 38:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda n'agamba nti: “Kiki ky'oyagala nkuwe ng'omusingo?” N'ayanukula nti: “Empeta y'akabonero ko, ko ekimyu kyo, n'omuggo gw'okutte mu ngalo.” N'abimuwa. Ne yeebaka naye, omukazi n'aba olubuto lwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yuda n’amuddamu nti, “Nkuwe musingo ki?” N’amugamba nti, “Akabonero ko, akajegere ko awamu n’omuggo gwo oguli mu mukono gwo.” Awo n’abimuwa, ne yeetaba naye, n’amufunyisa olubuto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amubuuza nti, “Musingo ki gwe nnaakuwa?” N'amuddamu nti, “Akabonero ko n'akajegere ko, n'omuggo gwo oguli mu mukono gwo.” N'abimuwa, ne yeegatta naye n'aba olubuto lwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Musingo ki gwe mba nkuwa?” N'addamu nti: “Akabonero ko, n'omuyondo gwo, n'omuggo gwo oguli mu ngalo zo.” N'abimuwa. Ne yeegatta naye. N'amufunyisa olubuto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Musingo ki gwe nnaakuwa? N'ayogera nti akabonero ko n’akajegere ko, n'omuggo gwo oguli mu mukono gwo. N'abimuwa, n'ayingira gy'ali, naye n'aba olubuto olulwe.