Genesis 38:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda n'amuweereza akabuzi ng'atuma mukwano gwe Omwadullamu, aggye ku mukazi omusingo gwe, kyokka n'amubulwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yuda bwe yatuma mukwano gwe Omudulamu, okutwala omwana gw’embuzi, addizibwe omusingo teyalaba ku mukazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda n'atuma mukwano gwe omwadulamu okutwalira omukazi omwana gw'embuzi n'okuggyayo omusingo gwe, naye n'atamulaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yuda n'atuma mukwano gwe Omwadulaamu okutwalira omukazi embuzi ento, n'okuggyayo omusingo, kyokka n'atamulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda n'aweereza omwana gw'embuzi mu mukono gwa mukwano gwe Omwadulamu, okuweebwa, omusingo mu mukono gw'omukazi: naye n'atamulaba.