Genesis 38:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abuuza abantu b'omu kifo ekyo nti: “Omuzaana w'omu kiggwa eyabadde atudde ku kkubo Enayimu ali ludda wa?” Ne baanukula nti: “Mu kifo kino temunnabaamu muzaana wa mu kiggwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yabuuliriza ab’omu kifo omwo, omukazi malaaya eyali Enayimu ku mabbali g’ekkubo, ne bamuddamu nti, “Wano tewabeeranga mukazi malaaya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alyoka abuuza abasajja ab'Enayimu nti, “Omukazi omwenzi abeera wano ku mabbali g'ekkubo ali ludda wa?” Ne bamuddamu nti, “Wano tewabawangawo mukazi mwenzi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abuuza abasajja ab'omu Enayimu nti: “Omukazi malaaya eyali wano ku kkubo ali ludda wa?” Ne baddamu nti: “Tewabanga mukazi malaaya wano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alyoka abuuza abasajja ab'ekifo kye nti Omwenzi ali ludda wa eyali e Nayimu ku mabbali g'ekkubo? Ne boogera nti Tewabanga wano mwenzi.