Genesis 38:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addayo eri Yuda n'amugamba nti: “Simusanzeeyo. N'abantu ab'omu kifo ekyo baŋŋambye nti: ‘Eyo tewatuulangayo muzaana wa mu kiggwa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka addayo eri Yuda n’amugamba nti takubikako kimunye; era n’abantu ab’ekitundu ekyo bamutegeezeza nti, “Awo tewabangawo mukazi malaaya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addayo eri Yuda, n'ayogera nti, “Simulabye; era n'abasajja ab'ekifo boogedde nti, ‘Wano tewabanga mwenzi.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'addayo eri Yuda, n'agamba nti: “Simulabye, era n'abasajja ab'omu kifo ekyo bagambye nti: ‘Tewabanga mukazi malaaya wano.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addayo eri Yuda, n'ayogera nti Simulabye; era n'abasajja ab'ekifo boogedde nti Tewabanga wano mwenzi.