Genesis 38:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda n'agamba nti: “Kale asigaze by'alina, sikulwa nga tufuuka eky'okusekerera. Kasita mmuweerezza akabuzi kano, newandibadde nga ggwe tomusanzeeyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yuda kwe kumugamba nti, “Omukazi oli, ebintu k’abisigaze tuleme okusekererwa, naweereza embuzi eno, naye n’atalabikako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda n'ayogera nti, “Gyetwalire, tuleme okukwatibwa ensonyi, kasita nnaweerezza omwana ogw'embuzi ogwo, naye ggwe n'otomulaba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yuda n'agamba nti: “Ebintu k'abyesigalize, tuleme kusekererwa, kavuna naweereza embuzi eyo ento, ggwe n'otomuloba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda n'ayogera nti Agyetwalire, tuleme okukwatibwa ensonyi: laba, naweerezza omwana ogwo ogw'embuzi, naawe n'otomulaba.