Genesis 38:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayise emyezi esatu, ne babuulira Yuda nti: “Tamari mukaamwana yakola obwamalaaya era wuuno ali lubuto.” Yuda n'agamba nti: “Mumufulumye ayokebwe omuliro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emyezi ng’esatu bwe gyayitawo ne bagamba Yuda nti, “Muka mwana wo Tamali yafuuka mwenzi. Ate ebyo nga biri awo obwenzi obwo yabufunamu n’olubuto.” Yuda kwe kwejuumuula nga bw’agamba nti, “Mumuleete ayokebwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka emyezi ng'esatu bwe gyayitawo ne babuulira Yuda nti, “Tamali muka mwana wo yayenda; kati ali lubuto lwa bwenzi.” Yuda n'ayogera nti, “Mumufulumye bamwokye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo emyezi ng'esatu, ne babuulira Yuda nti: “Tamari muka mwana wo, yakola obwamalaaya, era kati ali lubuto.” Yuda n'agamba nti: “Mumufulumye ayokebwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka emyezi ng'esatu bwe gyayitawo ne babuulira Yuda nti Tamali muka mwana wo yayenda; era nate, laba, ali lubuto lwa bwenzi. Yuda n'ayogera nti Mumufulumye, bamwokye.