Genesis 38:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali bamufulumya, n'atumya ewa ssezaala we ng'agamba nti: “Ndi lubuto lw'oyo nnannyini bintu bino. Weetegereze olabe oba oyinza okumanya nnannyini mpeta eno, n'ekimyu n'omuggo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tamali bwe yali atwalibwa n’atumira sezaala we Yuda n’amugamba nti, “Omusajja nannyini bintu bino ye kazaalabulwa. Nkusaba weetegereze ebintu bino: akabonero, akajegere n’omuggo, by’ani?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baamufulumya, n'atumira ssezaala we, ng'ayogera nti, “Omusajja nannyini bino ye yanfunyisa olubuto.” N'ayogera nti, “Nkwegayiridde, weetegereze ebintu bino by'ani: akabonero, akajegere n'omuggo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali nga bamufulumya, n'atumira ssezaala we, nti: “Omusajja nnannyini bintu bino, ye yanfunyisa olubuto. Nkwegayiridde, weetegereze. By'ani bino: akabonero, n'omuyondo, n'omuggo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baamufulumya, n'atumira ssezaala we, ng'ayogera nti Omusajja nannyini bino ye yangira olubuto: n'ayogera nti Tegeera, nkwegayiridde, bino by'ani, akabonero n'obujegere n'omuggo.