Genesis 38:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abitegeera n'agamba nti: “Mutuufu okunsinga, kubanga samuwaayo eri Sela mutabani wange.” Kyokka teyaddayo kwebaka naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yuda n’abitegeera n’agamba nti, “Omuwala mutuukirivu okunsinga, kubanga saamuwa mutabani wange Seera.” Yuda n’atamuddira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda n'abikkiriza, n'ayogera nti, “Ansinze nze okuba omutuukirivu; kubanga ssaamuwa Seera omwana wange.” Yuda n'ategatta naye nate mulundi gwa kubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yuda n'abitegeera, n'agamba nti: “Asinze, ye ye mutuufu, kubanga saamuwa Seela mutabani wange.” Yuda n'ataddayo kwebaka naye mulundi mulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda n'abikkiriza, n'ayogera nti Ansinze nze okuba omutuukirivu; kubanga saamuwa Seera omwana wange. N'atamumanya nate lwa kubiri.