Genesis 38:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kuzaalibwa omwana omu n'afulumya omukono, omuzaalisa n'asibako wuzi entwakaavu ng'agamba nti: “Ono y'asoose okufuluma.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe yali mu ssanya omulongo omu n’afulumya omukono gwe, omuzaalisa n’agukwata n’agusibako akawuzi akaakakobe nga bw’agamba nti, “Ono y’asoose okujja.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yali anaatera okuzaala, omu n'afulumya engalo ze; omuzaalisa n'azikwata n'asiba akagoye akamyufu ku ngalo ze, ng'ayogera nti, “Ono ye asoose okufuluma.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yali ng'alumwa okuzaala, omu n'afulumya ekibatu kye. Omuzaalisa n'akikwata, n'akisibako akawuzi akamyufu ng'agamba nti: “Ono ye asoose okufuluma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yali anaatera okuzaala, omu n'afulumya engalo ze: omuzaalisa n'azikwata n'asiba akagoye akamyufu ku ngalo ze, ng'ayogera nti Ono ye asoose okufuluma.