Genesis 38:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye n'azzaayo omukono, ate muganda we n'afuluma; omuzaalisa n'agamba nti: “Bw'otyo bw'owagaanyizza n'owaguza?” Olw'okubeera ekyo n'ayitibwa Perezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omulongo bwe yazzaayo omukono gwe munda, muganda we n’afuluma; omuzaalisa n’agamba nti, “Lwaki owaguzza?” Erinnya ly’omwana kyeryava liba Pereezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe yazzaayo engalo ze, muganda we n'afuluma; omuzaalisa n'ayogera nti, “Bw'otyo bw'owaguzza?” Kye yava amutuuma erinnya Pereezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye n'azzaayo ekibatu kye, muganda we n'afuluma. Omuzaalisa n'agamba nti: “Bw'otyo bw'owaguzza?” Kyeyava atuumibwa erinnya Pereezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, bwe yazzaayo engalo, laba, muganda we n'afuluma; n'ayogera nti Kiki ekikuwaguza wekka? erinnya lye kyeryava lituumibwa Pereezi.