Genesis 38:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda kwe kugamba Onani nti: “Weebake ne muka muganda wo otuukirize obuvunaanyizibwa gy'ali obw'okusitusiza muganda wo ezzadde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yuda n’agamba Onani nti, “Genda eri muka muganda wo, ofunire muganda wo ezzadde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda n'agamba Onani nti, “Twala nnamwandu wa muganda wo Eri omuwase, nga bwe kigwanira, oddizzeewo muganda wo ezzadde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yuda n'agamba Onani nti: “Twala nnamwandu wa muganda wo, nga muganda wa bba bw'agwanira okukola, ofunire muganda wo abaana.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda n'agamba Onani nti Yingira eri omukazi wa muganda wo, omuwase nga bwe kigwanira muganda wa bba, oddizeewo muganda wo ezzadde.