Genesis 38:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Onani bwe yamanya nti ezzadde teriibe lirye, bwe yeebakanga ne mulamu we, amazzi ng'agayiwa ku ttaka, aleme kufunira muganda we mwana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Onani n’amanya nti ezzadde teririba lirye; bw’atyo bwe yeetaba naye, amannyi n’agafuka wansi aleme okufunira muganda we ezzadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onani n'ategeera ng'ezzadde teririba lirye; awo olwatuuka bwe yeegatta ne nnamwandu wa muganda we, amazzi agazaala n'agafuka wansi, aleme okuwa muganda we ezzadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Onani n'ategeera ng'abaana tebaliba babe. Bwe yeebakanga ne nnamwandu wa muganda we, amazzi n'agafukanga wansi aleme okufunira muganda we abaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onani n'ategeera ng'ezzadde teririba lirye; awo olwatuuka bwe yayingira eri omukazi wa muganda we, n'agafuka wansi, aleme okuwa muganda we ezzadde.