Genesis 39:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu yali atwaliddwa e Misiri. Potifari Omumisiri, omukungu wa Faraawo omukulu w'abakuumi be, n'amugula ku Bayisimayeli abaali bamututteyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu bwe yatwalibwa e Misiri, Potifali omukungu wa Falaawo, omukulu w’abambowa Omumisiri n’amugula okuva ku Bayisimayiri abaamutwala e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu ne bamuserengesa mu Misiri; Potifaali, omwami wa Falaawo, omukulu w'abambowa, Omumisiri, n'amugula ku ba Isimaeri, abaamuserengesaayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu ne bamuserengesa mu Misiri, Potifaari Omumisiri, omukungu wa kabaka w'e Misiri, era omukulu w'abaserikale abakuuma olubiri, n'amugula ku Bayisimayeli abaamuserengesaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu ne bamuserengesa mu Misiri; Potifali, omwami wa Falaawo, omukulu w'abambowa, Omumisiri, n'amugula mu mukono gw'Abaisimaeri, abaamuserengesa eyo.