Genesis 39:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu Yozefu n'ayingira mu nnyumba okukola omulimu gwe; temwali muntu mulala mu nyumba;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye lwali lumu Yusufu bwe yayingira mu nju okukola emirimu gye nga tewali n’omu mu nnyumba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu biro ebyo, Yusufu n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye; nga tewali basajja balala mu nnyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye lwali lumu, Yosefu n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye, era nga tewali baweereza ba mu nnyumba balala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu biro ebyo n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye; so nga siwali basajja ba mu nnyumba muli munda.