Genesis 39:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'akoowoola abantu ab'omu nnyumba ye n'abagamba nti: “Ono omusajja Omwebureeyi baamuleeta wano kutujooga? Ayingidde ewange asobye nange, naye nze ne nkuba enduulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ayita abasajja ab’omu nnyumba ye n’abagamba nti, “Mulabe, yatuleetera Omwebbulaniya okutuduulira, yazze gye ndi okwebaka nange,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi n'alyoka ayita abasajja ab'omu nnyumba ye, n'abagamba nti, “Mulabe, baze yaleeta muno Omwebbulaniya okutujooga; ayingidde gye ndi okunsobyako, ne ndeekaana nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ayita abaweereza ab'omu nnyumba ye, n'abagamba nti: “Mulabe, baze yaleeta muno Omwebureeyi okutujooga. Ayingidde gye ndi okwebaka nange, ne ndeekaana nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'alyoka ayita abasajja ab'omu nnyumba ye, n'abagamba nti Laba, yayingiza Omwebbulaniya okutuduulira; ayingidde gye ndi okusula nange, ne nkoowoola n'eddoboozi ddene: