Genesis 39:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'alabye nkubye enduulu, n'aleka omunagiro gwe we mbadde, n'adduka n'afuluma.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bw’awulidde nga ndeekaana n’adduka n’ava mu nnyumba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olutuuse, bw'awulidde nga ndeekaana nnyo n'aleka ekyambalo kye mu ngalo zange n'adduka n'afuluma ebweru.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'awulidde nga nkubye enduulu n'andekera ekyambalo kye, n'adduka n'afuluma ebweru.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo olwatuuse, bw'awulidde nga nnyimusa eddoboozi lyange ne nkoowoola, n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi n'adduka n'avaayo.