Genesis 39:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bwe nawogganye ne nkuba enduulu, n'aleka awo omunagiro gwe we nabadde n'adduka n'afuluma.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nabadde nakaleekaana, n’aleka ekyambalo kye gye ndi, n’adduka n’ava mu nnyumba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, bwe nnaleekaana ennyo n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi, n'adduka n'afuluma ebweru.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe nakuba enduulu, n'andekera ekyambalo kye n'adduka n'afuluma ebweru.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo olwatuuka, bwe nnayimusa eddoboozi lyange ne nkoowoola, n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi, n'adduka n'avaayo.