Genesis 39:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukuumi w'ekkomera n'akwasa Yozefu abasibe bonna abaali bakuumirwa mu kkomera; n'amuwa obuvunaanyizibwa ku buli kyonna ekyakolebwangayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukuumi w’ekkomera n’ateeka abasibe bonna mu mikono gya Yusufu, era buli ekyakolebwanga nga Yusufu y’akirinako obuvunaanyizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukuumi w'ekkomera n'akwasa Yusufu abasibe bonna okubalabiriranga, era n'amuwa obuvunaanyizibwa ku buli kintu ekikolebwa mu kkomera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukuumi w'ekkomera n'akwasa Yosefu abasibe bonna mu kkomera okubalabiriranga, era n'amuwa obuvunaanyizibwa ku buli kintu ekikolebwa mu kkomera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukuumi w'ekkomera n'ateresa Yusufu mu mukono gwe abasibe bonna abaali mu kkomera; ne byonna bye baakola eyo, oyo ye yabikola.