Genesis 39:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukuumi w'ekkomera nga tafa nayo kulondoola Yozefu bye yali akola, kubanga Omukama yali naye; nga byonna by'akola abiwadde okulama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukuumi w’ekkomera nga tafaayo ku buli ekyalinga mu mikono gya Yusufu, kubanga Mukama yali naye, era Mukama n’amuwa omukisa mu buli kye yakolanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukuumi w'ekkomera teyatunuulira kintu ekyali wansi w'omukono gwa Yusufu, kubanga Mukama yali wamu ne Yusufu, n'ebyo bye yakola Mukama n'abiwa omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukuumi w'ekkomera teyeeraliikiriranga kintu na kimu ekyakwasibwa Yosefu, kubanga Mukama yali wamu ne Yosefu, n'awa omukisa buli kimu kye yakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukuumi w'ekkomera teyatunuulira kintu ekyali wansi w'omukono gwe, kubanga Mukama yali wamu naye; n'ebyo bye yakola, Mukama n'abiwa omukisa.