Genesis 39:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yozefu n'asanga ekisa mu maaso ga mukama we, n'amukuza, n'amuwa okulabirira ennyumba ye, n'amufuula omuwanika w'ebintu bye byonna bye yalina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu n’aganja nnyo mu maaso ga mukama we, n’amulabiriranga, n’amufuula omukulu we nnyumba ye ne byonna bye yalina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Potifaali n'asiima Yusufu, n'amufuula omuweereza we ow'enjawulo, n'amuwa okulabiriranga ennyumba ye, n'okukuumanga ebibye byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Potifaari n'asiima Yosefu, n'amufuula omuweereza we owenjawulo, n'amuwa okulabiriranga ennyumba ye, n'okukuumanga ebibye byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'alaba ekisa mu maaso ge, n'amuweereza: n'amufuula omulabirizi w'ennyumba ye, ne bye yali nabyo byonna n'abiteeka mu mukono gwe.